Add parallel Print Page Options

Amannya g’Abaawaŋŋangusibwa Abaakomawo

(A)Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa.

Read full chapter

18 (A)Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284).

Read full chapter

(A)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
    abeesiga Katonda wa Isirayiri,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Read full chapter

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (A)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.

Read full chapter

10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
    ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.

Read full chapter

20 (A)Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 (B)Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

73 (A)Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.

Ezera Asoma Etteeka

Awo mu mwezi ogw’omusanvu,

Read full chapter