Add parallel Print Page Options

12 (A)Tosaanye kusekerera muganda wo
    mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
    olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
    ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.

Read full chapter

(A)Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
    n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.

Read full chapter

17 (A)Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
    bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
    n’amusunguwalira.

Read full chapter