Add parallel Print Page Options

10 (A)Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde;

Read full chapter

(A)Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala[a], ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu[b] mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 15:5 Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46)
  2. 15:5 Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

(A)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.

Read full chapter

(A)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.

Read full chapter