Add parallel Print Page Options

27 (A)Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu.

Read full chapter

(A)Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, n’ebidiba, n’ensulo ez’amazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu. Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, n’emitiini n’emikomamawanga, ensi ey’emizabbibu n’omubisi gw’enjuki; ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo.

Read full chapter

10 Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. 11 (A)Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. 12 (B)Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.

Read full chapter

34 (A)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (B)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (C)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 (D)Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (E)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (F)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

Read full chapter

18 (A)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

Read full chapter