Add parallel Print Page Options

Emirimu gya Bakabona n’egy’Abaleevi

18 (A)Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona. (B)Onooleetanga Abaleevi banno ab’omu kika kyo eky’obujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya Mukama omuli Essanduuko ey’Endagaano. (C)Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema ya Mukama; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde eby’omu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa. Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema, era tewaabenga mugwira n’omu anaasemberanga we muli.

(D)“Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri. (E)Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. (F)Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.”

Omugabo gwa Bakabona n’ogw’Abaleevi

(G)Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogw’olubeerera[a]. (H)Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo eby’emmere y’empeke oba ebiweebwayo olw’ekibi, oba ebiweebwayo olw’omusango. 10 (I)Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo.

11 (J)“Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.

12 (K)“Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera Mukama eby’amakungula gaabwe. 13 (L)Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.

14 (M)“Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri Mukama kinaabanga kikyo. 15 (N)Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga. 16 (O)Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri.

17 (P)“Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 18 (Q)Ennyama yaazo eneebanga yiyo ng’ekiweebwayo ky’ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo. 19 (R)Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya Mukama wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.”

20 (S)Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri.

Ekitundu eky’ekkumi Okukiwa Abaleevi

21 (T)“Ebitundu eby’ekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olw’omulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 22 (U)Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa. 23 (V)Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri. 24 Kubanga ebitundu eby’ekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.”

Ekitundu eky’Ekkumi Abaleevi kye baawangayo

25 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 26 (W)“Yogera n’Abaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu eby’ekkumi, bye mbawadde ng’omugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu eky’ekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda. 27 Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ng’emmere y’empeke ey’omu gguuliro oba ng’omubisi ogw’omu ssogolero. 28 (X)Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu eby’ekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo eby’ekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona. 29 Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.’

30 (Y)“Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero. 31 Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 32 (Z)Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”

Footnotes

  1. 18:8 Abaleevi tebaalina mugabo gwonna mu Isirayiri. Abaleevi baalina ebibuga bitono n’ebifo mwe baalundiranga nga bitono. Kyokka bakabona bo tebaalina kintu. Abaleevi baafunanga empeera yaabwe okuva mu kimu eky’ekkumi ekyaweebwangayo Abayisirayiri (nny. 25-32). Abaleevi baafunanga ne ku ssaddaaka ezaweebwangayo abantu. Era ssaddaaka ezo baaziryanga n’ab’omu maka gaabwe ebweru w’awatukuvu (nny. 11).

Duties of Priests and Levites

18 The Lord said to Aaron, “You, your sons and your family are to bear the responsibility for offenses connected with the sanctuary,(A) and you and your sons alone are to bear the responsibility for offenses connected with the priesthood. Bring your fellow Levites from your ancestral tribe to join you and assist you when you and your sons minister(B) before the tent of the covenant law. They are to be responsible to you(C) and are to perform all the duties of the tent,(D) but they must not go near the furnishings of the sanctuary or the altar. Otherwise both they and you will die.(E) They are to join you and be responsible for the care of the tent of meeting—all the work at the tent—and no one else may come near where you are.(F)

“You are to be responsible for the care of the sanctuary and the altar,(G) so that my wrath will not fall on the Israelites again. I myself have selected your fellow Levites from among the Israelites as a gift to you,(H) dedicated to the Lord to do the work at the tent of meeting.(I) But only you and your sons may serve as priests in connection with everything at the altar and inside the curtain.(J) I am giving you the service of the priesthood as a gift.(K) Anyone else who comes near the sanctuary is to be put to death.(L)

Offerings for Priests and Levites

Then the Lord said to Aaron, “I myself have put you in charge of the offerings presented to me; all the holy offerings the Israelites give me I give to you and your sons as your portion,(M) your perpetual share.(N) You are to have the part of the most holy offerings(O) that is kept from the fire. From all the gifts they bring me as most holy offerings, whether grain(P) or sin[a](Q) or guilt offerings,(R) that part belongs to you and your sons. 10 Eat it as something most holy; every male shall eat it.(S) You must regard it as holy.(T)

11 “This also is yours: whatever is set aside from the gifts of all the wave offerings(U) of the Israelites. I give this to you and your sons and daughters as your perpetual share.(V) Everyone in your household who is ceremonially clean(W) may eat it.

12 “I give you all the finest olive oil and all the finest new wine and grain(X) they give the Lord(Y) as the firstfruits of their harvest.(Z) 13 All the land’s firstfruits that they bring to the Lord will be yours.(AA) Everyone in your household who is ceremonially clean may eat it.(AB)

14 “Everything in Israel that is devoted[b] to the Lord(AC) is yours. 15 The first offspring of every womb, both human and animal, that is offered to the Lord is yours.(AD) But you must redeem(AE) every firstborn(AF) son and every firstborn male of unclean animals.(AG) 16 When they are a month old,(AH) you must redeem them at the redemption price set at five shekels[c](AI) of silver, according to the sanctuary shekel,(AJ) which weighs twenty gerahs.(AK)

17 “But you must not redeem the firstborn of a cow, a sheep or a goat; they are holy.(AL) Splash their blood(AM) against the altar and burn their fat(AN) as a food offering, an aroma pleasing to the Lord.(AO) 18 Their meat is to be yours, just as the breast of the wave offering(AP) and the right thigh are yours.(AQ) 19 Whatever is set aside from the holy(AR) offerings the Israelites present to the Lord I give to you and your sons and daughters as your perpetual share. It is an everlasting covenant of salt(AS) before the Lord for both you and your offspring.”

20 The Lord said to Aaron, “You will have no inheritance in their land, nor will you have any share among them;(AT) I am your share and your inheritance(AU) among the Israelites.

21 “I give to the Levites all the tithes(AV) in Israel as their inheritance(AW) in return for the work they do while serving at the tent of meeting.(AX) 22 From now on the Israelites must not go near the tent of meeting, or they will bear the consequences of their sin and will die.(AY) 23 It is the Levites who are to do the work at the tent of meeting and bear the responsibility for any offenses they commit against it. This is a lasting ordinance(AZ) for the generations to come.(BA) They will receive no inheritance(BB) among the Israelites.(BC) 24 Instead, I give to the Levites as their inheritance the tithes that the Israelites present as an offering to the Lord.(BD) That is why I said concerning them: ‘They will have no inheritance among the Israelites.’”

25 The Lord said to Moses, 26 “Speak to the Levites and say to them: ‘When you receive from the Israelites the tithe I give you(BE) as your inheritance, you must present a tenth of that tithe as the Lord’s offering.(BF) 27 Your offering will be reckoned(BG) to you as grain from the threshing floor(BH) or juice from the winepress.(BI) 28 In this way you also will present an offering to the Lord from all the tithes(BJ) you receive from the Israelites. From these tithes you must give the Lord’s portion to Aaron the priest. 29 You must present as the Lord’s portion the best and holiest part of everything given to you.’

30 “Say to the Levites: ‘When you present the best part, it will be reckoned to you as the product of the threshing floor or the winepress.(BK) 31 You and your households may eat the rest of it anywhere, for it is your wages for your work at the tent of meeting.(BL) 32 By presenting the best part(BM) of it you will not be guilty in this matter;(BN) then you will not defile the holy offerings(BO) of the Israelites, and you will not die.’”

Footnotes

  1. Numbers 18:9 Or purification
  2. Numbers 18:14 The Hebrew term refers to the irrevocable giving over of things or persons to the Lord.
  3. Numbers 18:16 That is, about 2 ounces or about 58 grams