Add parallel Print Page Options

Okutukuza Atali Mulongoofu

19 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, (A)“Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo. (B)Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru w’olusiisira n’ettirwa mu maaso ge. (C)Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu. (D)Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo. (E)Kabona anaddiranga omuti omwerezi, n’ezobu n’olugoye olumyufu n’abisuula wakati mu nte eyokebwa. (F)Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

(G)“Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu ly’ente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi ag’okwerongoosa; kwe kulongoosebwa okw’okuggibwako ekibi. 10 Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.

11 (H)“Buli anaakwatanga ku mulambo ogw’omuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. 12 (I)Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu. 13 (J)Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.

14 “Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu. 15 Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu.

16 (K)“Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.

17 (L)“Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu ery’oku kiweebwayo olw’ekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi. 18 (M)Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe. 19 (N)Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lw’omusanvu, ne ku lunaku olw’omusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, n’okunaaba n’anaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu.

Ekibonerezo eky’Obuteerongoosa

20 “Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu. 21 Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 (O)Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”

The Water of Cleansing

19 The Lord said to Moses and Aaron: “This is a requirement of the law that the Lord has commanded: Tell the Israelites to bring you a red heifer(A) without defect or blemish(B) and that has never been under a yoke.(C) Give it to Eleazar(D) the priest; it is to be taken outside the camp(E) and slaughtered in his presence. Then Eleazar the priest is to take some of its blood on his finger and sprinkle(F) it seven times toward the front of the tent of meeting. While he watches, the heifer is to be burned—its hide, flesh, blood and intestines.(G) The priest is to take some cedar wood, hyssop(H) and scarlet wool(I) and throw them onto the burning heifer. After that, the priest must wash his clothes and bathe himself with water.(J) He may then come into the camp, but he will be ceremonially unclean till evening. The man who burns it must also wash his clothes and bathe with water, and he too will be unclean till evening.

“A man who is clean shall gather up the ashes of the heifer(K) and put them in a ceremonially clean place(L) outside the camp. They are to be kept by the Israelite community for use in the water of cleansing;(M) it is for purification from sin.(N) 10 The man who gathers up(O) the ashes of the heifer must also wash his clothes, and he too will be unclean till evening.(P) This will be a lasting ordinance(Q) both for the Israelites and for the foreigners residing among them.(R)

11 “Whoever touches a human corpse(S) will be unclean for seven days.(T) 12 They must purify themselves with the water on the third day and on the seventh day;(U) then they will be clean. But if they do not purify themselves on the third and seventh days, they will not be clean.(V) 13 If they fail to purify themselves after touching a human corpse,(W) they defile the Lord’s tabernacle.(X) They must be cut off from Israel.(Y) Because the water of cleansing has not been sprinkled on them, they are unclean;(Z) their uncleanness remains on them.

14 “This is the law that applies when a person dies in a tent: Anyone who enters the tent and anyone who is in it will be unclean for seven days, 15 and every open container(AA) without a lid fastened on it will be unclean.

16 “Anyone out in the open who touches someone who has been killed with a sword or someone who has died a natural death,(AB) or anyone who touches a human bone(AC) or a grave,(AD) will be unclean for seven days.(AE)

17 “For the unclean person, put some ashes(AF) from the burned purification offering into a jar and pour fresh water(AG) over them. 18 Then a man who is ceremonially clean is to take some hyssop,(AH) dip it in the water and sprinkle(AI) the tent and all the furnishings and the people who were there. He must also sprinkle anyone who has touched a human bone or a grave(AJ) or anyone who has been killed or anyone who has died a natural death. 19 The man who is clean is to sprinkle(AK) those who are unclean on the third and seventh days, and on the seventh day he is to purify them.(AL) Those who are being cleansed must wash their clothes(AM) and bathe with water, and that evening they will be clean. 20 But if those who are unclean do not purify themselves, they must be cut off from the community, because they have defiled(AN) the sanctuary of the Lord.(AO) The water of cleansing has not been sprinkled on them, and they are unclean.(AP) 21 This is a lasting ordinance(AQ) for them.

“The man who sprinkles the water of cleansing must also wash his clothes, and anyone who touches the water of cleansing will be unclean till evening. 22 Anything that an unclean(AR) person touches becomes unclean, and anyone who touches it becomes unclean till evening.”