Add parallel Print Page Options

(A)Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

(B)Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

(C)Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

(D)Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.

10 (E)Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 11 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).

12 (F)Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 13 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

14 (G)Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 15 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

16 (H)Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.

17 (I)Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye.

18 (J)Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi. 19 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

20 (K)Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 21 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

22 (L)Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni. 23 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

24 (M)Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.

25 (N)Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.

Read full chapter

Emiryango egy’Ekibuga

30 “Gino gye giriba emiryango egy’ekibuga egifulumirwamu:

“Okuva ku luuyi olw’Obukiikakkono, obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, 31 emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi.

32 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani.

33 Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni.

34 Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali.

Read full chapter

13 Ku luuyi olw’ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olw’obugwanjuba nga kuliko emiryango esatu.

Read full chapter