Add parallel Print Page Options

Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo

14 (A)Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,

“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 15 (B)Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 (C)naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.

17 (D)“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”

18 Naye Edomu n’addamu nti,

“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”

19 (E)Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,

“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”

20 Naye Edomu n’addamu nti,

“Temuyitawo.”

Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 21 (F)Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.

Read full chapter

(A)Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo. (B)Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira. Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”

Read full chapter

(A)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.”

Read full chapter

18 “Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali. 19 (A)Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”

Read full chapter