Add parallel Print Page Options

(A)“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”

(B)Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 10 (C)Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 11 (D)Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.

12 (E)Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”

Read full chapter