Add parallel Print Page Options

Okulagula kwa Balamu Okusooka

23 (A)Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.”

Read full chapter

29 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.”

Read full chapter

(A)Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;[a] yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:5 Etteeka lya Musa nga terinnabaawo, omukulu w’ennyumba ye yabanga kabona w’ennyumba ye.

17 (A)Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana.

Read full chapter

15 Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. 16 (A)Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

Read full chapter

16 (A)Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa.

Read full chapter

30 (A)Alinunula n’oyo aliko omusango,
    alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”

Read full chapter