Add parallel Print Page Options

Ekiweebwayo ng’Omwezi Gwakaboneka

11 (A)“Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo. 12 (B)Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; 13 (C)ku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda. 14 (D)Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka. 15 (E)Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.

Read full chapter

17 (A)N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.

Read full chapter

54 Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.

Read full chapter

(A)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi.

Read full chapter

(A)Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo.

Read full chapter