Add parallel Print Page Options

(A)Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku. Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi; (B)nga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni. (C)Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama. (D)Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu. (E)Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’ 

Read full chapter

40 (A)okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.

Read full chapter

11 (A)“N’okuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ng’eggyiddwawo n’eby’emizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.

Read full chapter