Add parallel Print Page Options

10 (A)“Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani, 11 (B)mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga. 12 (C)Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga[a], omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina. 13 Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro. 14 Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro. 15 Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’

16 (D)“ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 17 Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala. 18 Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 19 (E)Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga. 20 (F)Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta, 21 oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.

22 (G)“ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba, 23 oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya; 24 (H)kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali. 25 (I)Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa.

26 “ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira, 27 omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu. 28 Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka.

Amateeka ku Bujulizi n’Okununula

29 (J)“ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga. 30 (K)Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.

31 “ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.

32 “ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.

33 (L)“ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo. 34 (M)Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”

Read full chapter

Footnotes

  1. 35:12 Omuwoolezi w’eggwanga Yabanga waaluganda wakumpi ddala.

weeyawulirangako ebibuga bisatu[a] nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya. Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.

Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.

(A)Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. Mukama Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, (B)kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu. 10 (C)Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.

11 (D)Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12 abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. 13 (E)Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 19:2 ebibuga bisatu Bino byali bibuga bisatu ebirala eby’okuddukirangamu, nga biri mu bugwanjuba bwa Yoludaani.

(A)Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi w’eggwanga okutuusa lw’aliyimirira mu maaso g’ekibiina.

Read full chapter

(A)Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.

Read full chapter

10 Leero okirabye n’amaaso go, Mukama bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’

Read full chapter

18 (A)Leero ontegeezezza bw’onkoze obulungi, bw’otanzise ate nga Mukama yampaddeyo mu mukono gwo.

Read full chapter