Add parallel Print Page Options

24 “Gino gye mirimu eginaakolebwanga ab’omu mpya z’Abagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu: 25 (A)Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 26 n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo.

Read full chapter

28 (A)Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.

Read full chapter