Add parallel Print Page Options

53 (A)Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”

Read full chapter

48 (A)Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.

Read full chapter

(A)“Leeta ab’omu kika kya Leevi[a] obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. (B)Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:6 Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona.

38 (A)Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri.

Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.

Read full chapter

18 (A)Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.

Read full chapter

Ebirabo eby’Okusinza

(A)Keezeekiya n’addira bakabona n’Abaleevi n’abassa mu bibinja, buli omu ng’obuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe okuweerezanga, n’okwebazanga, n’okutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter