Add parallel Print Page Options

Amazzi Okuva mu Lwazi

20 (A)Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.

(B)Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni. (C)Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda! (D)Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe? (E)Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”

(F)Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (G)“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”

(H)Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 10 (I)Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 11 (J)Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.

12 (K)Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”

13 (L)Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.

Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo

14 (M)Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,

“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 15 (N)Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 (O)naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.

17 (P)“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”

18 Naye Edomu n’addamu nti,

“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”

19 (Q)Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,

“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”

20 Naye Edomu n’addamu nti,

“Temuyitawo.”

Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 21 (R)Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.

Okufa kwa Alooni

22 (S)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. 23 (T)Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, 24 (U)“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. 25 (V)Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; 26 (W)Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”

27 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. 28 (X)Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. 29 (Y)Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.

Water From the Rock

20 In the first month the whole Israelite community arrived at the Desert of Zin,(A) and they stayed at Kadesh.(B) There Miriam(C) died and was buried.

Now there was no water(D) for the community,(E) and the people gathered in opposition(F) to Moses and Aaron. They quarreled(G) with Moses and said, “If only we had died when our brothers fell dead(H) before the Lord!(I) Why did you bring the Lord’s community into this wilderness,(J) that we and our livestock should die here?(K) Why did you bring us up out of Egypt to this terrible place? It has no grain or figs, grapevines or pomegranates.(L) And there is no water to drink!(M)

Moses and Aaron went from the assembly to the entrance to the tent of meeting(N) and fell facedown,(O) and the glory of the Lord(P) appeared to them. The Lord said to Moses, “Take the staff,(Q) and you and your brother Aaron gather the assembly together. Speak to that rock before their eyes and it will pour out its water.(R) You will bring water out of the rock for the community so they and their livestock can drink.”

So Moses took the staff(S) from the Lord’s presence,(T) just as he commanded him. 10 He and Aaron gathered the assembly together(U) in front of the rock and Moses said to them, “Listen, you rebels, must we bring you water out of this rock?”(V) 11 Then Moses raised his arm and struck the rock twice with his staff. Water(W) gushed out, and the community and their livestock drank.

12 But the Lord said to Moses and Aaron, “Because you did not trust in me enough to honor me as holy(X) in the sight of the Israelites, you will not bring this community into the land I give them.”(Y)

13 These were the waters of Meribah,[a](Z) where the Israelites quarreled(AA) with the Lord and where he was proved holy among them.(AB)

Edom Denies Israel Passage

14 Moses sent messengers from Kadesh(AC) to the king of Edom,(AD) saying:

“This is what your brother Israel says: You know(AE) about all the hardships(AF) that have come on us. 15 Our ancestors went down into Egypt,(AG) and we lived there many years.(AH) The Egyptians mistreated(AI) us and our ancestors, 16 but when we cried out to the Lord, he heard our cry(AJ) and sent an angel(AK) and brought us out of Egypt.(AL)

“Now we are here at Kadesh, a town on the edge of your territory.(AM) 17 Please let us pass through your country. We will not go through any field or vineyard, or drink water from any well. We will travel along the King’s Highway and not turn to the right or to the left until we have passed through your territory.(AN)

18 But Edom(AO) answered:

“You may not pass through here; if you try, we will march out and attack you with the sword.(AP)

19 The Israelites replied:

“We will go along the main road, and if we or our livestock(AQ) drink any of your water, we will pay for it.(AR) We only want to pass through on foot—nothing else.”

20 Again they answered:

“You may not pass through.(AS)

Then Edom(AT) came out against them with a large and powerful army. 21 Since Edom refused to let them go through their territory,(AU) Israel turned away from them.(AV)

The Death of Aaron

22 The whole Israelite community set out from Kadesh(AW) and came to Mount Hor.(AX) 23 At Mount Hor, near the border of Edom,(AY) the Lord said to Moses and Aaron, 24 “Aaron will be gathered to his people.(AZ) He will not enter the land I give the Israelites, because both of you rebelled against my command(BA) at the waters of Meribah.(BB) 25 Get Aaron and his son Eleazar and take them up Mount Hor.(BC) 26 Remove Aaron’s garments(BD) and put them on his son Eleazar, for Aaron will be gathered to his people;(BE) he will die there.”

27 Moses did as the Lord commanded: They went up Mount Hor(BF) in the sight of the whole community. 28 Moses removed Aaron’s garments and put them on his son Eleazar.(BG) And Aaron died there(BH) on top of the mountain. Then Moses and Eleazar came down from the mountain, 29 and when the whole community learned that Aaron had died,(BI) all the Israelites mourned for him(BJ) thirty days.

Footnotes

  1. Numbers 20:13 Meribah means quarreling.