Add parallel Print Page Options

Okulagula kwa Balamu Okusembayo

20 (A)Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,

“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
    naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”

Read full chapter

16 (A)Naye mu bibuga bino Mukama Katonda wo by’akuwa okuba obusika bwo obw’enkalakkalira, tewaabeerengawo kintu n’ekimu ky’onoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala. 17 Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga Mukama Katonda wo bw’akulagidde, 18 (B)balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri Mukama Katonda wammwe.

Read full chapter

17 (A)Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo.

Read full chapter

19 (A)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.

Read full chapter