Add parallel Print Page Options

Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani

33 (A)Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira.

Bino bye bitundu ebyo: (B)Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; (C)ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.

(D)Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.

(E)Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.

(F)Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.

(G)Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.

(H)Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.

10 Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.

11 (I)Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.

12 Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.

13 Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.

14 Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.

15 (J)Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.

16 (K)Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.

17 (L)Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.

18 Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.

19 Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.

20 (M)Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.

21 Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.

22 Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.

23 Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.

24 Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.

25 Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.

26 Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.

27 Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.

28 Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.

29 Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.

30 (N)Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.

31 Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.

32 Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.

33 (O)Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.

34 Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.

35 (P)Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.

36 (Q)Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.

37 (R)Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. 38 (S)Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 39 Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.

40 (T)Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.

41 Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.

42 Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.

43 (U)Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.

44 (V)Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.

45 Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.

46 Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.

47 (W)Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.

48 (X)Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. 49 (Y)Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.

50 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, 51 (Z)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; 52 (AA)mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. 53 (AB)Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. 54 (AC)Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.

55 (AD)“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. 56 Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”