Add parallel Print Page Options

(A)Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”

Read full chapter

17 (A)Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.”

Read full chapter

Aleruuya

19 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,

“Aleruuya!
Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.

Read full chapter

10 (A)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,

“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
    n’obwakabaka bwa Katonda waffe
    awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
    eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
    agobeddwa mu ggulu.

Read full chapter

44 (A)“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

14 (A)N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

Read full chapter

27 (A)N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’

Read full chapter