Add parallel Print Page Options

(A)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka.

Read full chapter

14 (A)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
    n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
    okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
    oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

Read full chapter

11 (A)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula.

Read full chapter