Okubikkulirwa 13:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 6 (B)Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 10:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
Read full chapter
Isaaya 14:13-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Wayogera mu mutima gwo nti,
“Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (B)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
Danyeri 7:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.
Read full chapter
Danyeri 8:11-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo. 12 Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.
Read full chapter
Danyeri 8:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.
Read full chapter
2 Basessaloniika 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.
Read full chapter
Isaaya 10:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Kubanga mu kaseera katono nnyo
obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
Isaaya 26:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe
muggalewo enzigi zammwe.
Mwekweke okumala akabanga katono,
okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.