Add parallel Print Page Options

27 (A)Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.

Read full chapter

11 (A)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

Read full chapter

22 (A)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
    naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

Read full chapter

13 (A)Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,
    leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;
naye empewo eribatwala,
    omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.
Naye oyo anfuula ekiddukiro kye
    alirya ensi
    era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”

Read full chapter

(A)Mu kifo ky’ensonyi,
    abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.
Mu kifo ky’okuswala
    basanyuke olw’ebyo bye balifuna
era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,
    essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

13 (A)Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa.

Read full chapter

25 (A)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”

Read full chapter

23 (A)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
    balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
    era baliyimirira
    ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.

Read full chapter

10 (A)Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

Read full chapter

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (A)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.

Read full chapter