Add parallel Print Page Options

(A)Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi.

Read full chapter

Omuzingo gw’Ekitabo n’Omwana gw’Endiga

(A)Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu.

Read full chapter

(A)Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.

Read full chapter

(A)Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka.

Read full chapter

(A)Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe.

Read full chapter

(A)Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,

“Aleruuya,
    kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.

Read full chapter