Add parallel Print Page Options

144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo

(A)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, (B)“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.” (C)Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.

Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.

Ekibiina ky’Abantu Obutabalika nga bambadde Ebyambalo Ebyeru

(D)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe. 10 (E)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti,

“Obulokozi bwa Katonda waffe
atudde ku ntebe ey’obwakabaka
era bwa Mwana gw’Endiga.”

11 (F)Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. 12 (G)Ne bayimba nti,

“Amiina!
Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi,
n’okwebazibwa, n’ettendo,
n’obuyinza, n’amaanyi,
bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Amiina!”

13 Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”

14 (H)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”

N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 15 (I)Kyebavudde

“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda
    nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.
Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,
    anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 (J)Tebaliddayo kulumwa njala
    wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
    wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 (K)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
    y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
    Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

144,000 Sealed

After this I saw four angels standing at the four corners(A) of the earth, holding back the four winds(B) of the earth to prevent(C) any wind from blowing on the land or on the sea or on any tree. Then I saw another angel coming up from the east, having the seal(D) of the living God.(E) He called out in a loud voice to the four angels who had been given power to harm the land and the sea:(F) “Do not harm(G) the land or the sea or the trees until we put a seal on the foreheads(H) of the servants of our God.” Then I heard the number(I) of those who were sealed: 144,000(J) from all the tribes of Israel.

From the tribe of Judah 12,000 were sealed,

from the tribe of Reuben 12,000,

from the tribe of Gad 12,000,

from the tribe of Asher 12,000,

from the tribe of Naphtali 12,000,

from the tribe of Manasseh 12,000,

from the tribe of Simeon 12,000,

from the tribe of Levi 12,000,

from the tribe of Issachar 12,000,

from the tribe of Zebulun 12,000,

from the tribe of Joseph 12,000,

from the tribe of Benjamin 12,000.

The Great Multitude in White Robes

After this I looked, and there before me was a great multitude that no one could count, from every nation, tribe, people and language,(K) standing before the throne(L) and before the Lamb. They were wearing white robes(M) and were holding palm branches in their hands. 10 And they cried out in a loud voice:

“Salvation belongs to our God,(N)
who sits on the throne,(O)
and to the Lamb.”

11 All the angels were standing around the throne and around the elders(P) and the four living creatures.(Q) They fell down on their faces(R) before the throne and worshiped God, 12 saying:

“Amen!
Praise and glory
and wisdom and thanks and honor
and power and strength
be to our God for ever and ever.
Amen!”(S)

13 Then one of the elders asked me, “These in white robes(T)—who are they, and where did they come from?”

14 I answered, “Sir, you know.”

And he said, “These are they who have come out of the great tribulation; they have washed their robes(U) and made them white in the blood of the Lamb.(V) 15 Therefore,

“they are before the throne of God(W)
    and serve him(X) day and night in his temple;(Y)
and he who sits on the throne(Z)
    will shelter them with his presence.(AA)
16 ‘Never again will they hunger;
    never again will they thirst.(AB)
The sun will not beat down on them,’[a]
    nor any scorching heat.(AC)
17 For the Lamb at the center of the throne
    will be their shepherd;(AD)
‘he will lead them to springs of living water.’[b](AE)
    ‘And God will wipe away every tear from their eyes.’[c](AF)

Footnotes

  1. Revelation 7:16 Isaiah 49:10
  2. Revelation 7:17 Isaiah 49:10
  3. Revelation 7:17 Isaiah 25:8