Okubikkulirwa 8:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.
Read full chapter
Okubikkulirwa 16:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi.
Read full chapter
Zekkaliya 4:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.
Read full chapter
Okubikkulirwa 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulamusa n’Okutendereza Mukama
4 (A)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.
Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a]
Read full chapterFootnotes
- 1:4 Amakanisa omusanvu gaali geeyawudde kilomita amakumi ataano nga gali mu ngeri ya nnekulungo, okuva ku Efeso okutuuka ku Lawodikiya, ekiri mu buvanjuba bwa Efeso. Ekitabo kyonna ekya kubikkulirwa kyaweerezebwa mu buli kkanisa
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.