Okubikkulirwa 22:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira.
Read full chapter
Okubikkulirwa 22:18-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (B)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
Read full chapter
Okubikkulirwa 19:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.