Add parallel Print Page Options

13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

Read full chapter

23 (A)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.

Read full chapter

27 (A)Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.

Read full chapter

Olukwe olw’Okutta Yesu

26 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti,

Read full chapter

(A)“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”

Read full chapter

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:1 Embaga ey’Okuyitako: Mbaga ya Bayudaaya ejjukirirwako olunaku Malayika wa Mukama lwe yatta abaana ba Misiri ababereberye mu Misiri, kyokka n’alekawo Abayisirayiri. Abaana b’endiga oba ab’embuzi battibwanga ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi gwa Nisani (Maaki-Apuli) mu kukwata embaga eyo. Omukolo ogwo gwatandikibwanga mu ssaawa ez’akawungeezi ng’enjuba egoloobye ne guggwa ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro

Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere

13 (A)Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

Read full chapter

17 (A)Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama.

Read full chapter

18 (A)Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu

Read full chapter