Okuva 12:18-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Mu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, okutuusa ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu olw’omwezi ogwo. 19 Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ng’alidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira. 20 Temulyanga kintu kyonna omuli ekizimbulukusa; mu nnyumba zammwe mwe musula yonna, mulyanga emigaati egitali mizimbulukuse.”
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 16:5-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako, 6 (A)wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. 7 (B)Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo. 8 (C)Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.
Read full chapter
Makko 14:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekyekiro kya Mukama Waffe
12 (A)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.