Add parallel Print Page Options

12 (A)Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama. 13 (B)Buli kalogoyi[a] akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.

Read full chapter

Footnotes

  1. 13:13 Endogoyi zaali nsolo ezitali nnongoofu (Kbl 18:15) nga teziyinza kuweebwayo nga ssaddaaka. Kyokka omuntu yayinzanga okuziwanyisaamu omwana gw’endiga, era ekyo kiraga omuwendo gw’endogoyi mu byenfuna

15 (A)Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’

Read full chapter

29 (A)“Tolwangawo kuwaayo ku bibala ebibereberye nga byengedde.

“Mutabani wo omubereberye onoomumpanga.

Read full chapter

13 (A)kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”

Read full chapter

Ebibereberye eby’Ebisolo Ebirundibwa

19 (A)Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya.

Read full chapter

23 (A)Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.”

Read full chapter