Add parallel Print Page Options

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

(A)Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.

Read full chapter

11 (A)Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,
    ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;
aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.
    Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 (B)eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa
    ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,
eyayawulamu amazzi nga balaba,
    yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 (C)Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?
    Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
    Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
    okwekolera erinnya ery’ettendo.

Read full chapter