Add parallel Print Page Options

Okutukuza Ebibereberye

13 Awo Mukama n’agamba Musa nti, (A)“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

(B)Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa. (C)Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri. (D)Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno. (E)Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama. Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe. (F)Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ (G)Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 10 (H)Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.

Ebibereberye

11 Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa, 12 (I)Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama. 13 (J)Buli kalogoyi[a] akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.

14 (K)“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi. 15 (L)Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’ 16 (M)Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”

Empagi ey’Ekire n’Empagi ey’Omuliro

17 (N)Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi.[b] Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.” 18 (O)Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.

19 (P)Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”

20 (Q)Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira. 21 (R)Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro. 22 Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.

Footnotes

  1. 13:13 Endogoyi zaali nsolo ezitali nnongoofu (Kbl 18:15) nga teziyinza kuweebwayo nga ssaddaaka. Kyokka omuntu yayinzanga okuziwanyisaamu omwana gw’endiga, era ekyo kiraga omuwendo gw’endogoyi mu byenfuna
  2. 13:17 Ekkubo Abayisirayiri lye baakwata okuva mu Misiri, lyaliko ebigo ebbali n’ebbali, Abamisiri mwe baalabirizanga abaaliyitangamu

Consecration of the Firstborn

13 The Lord said to Moses, “Consecrate to me every firstborn male.(A) The first offspring of every womb among the Israelites belongs to me, whether human or animal.”

Then Moses said to the people, “Commemorate this day, the day you came out of Egypt,(B) out of the land of slavery, because the Lord brought you out of it with a mighty hand.(C) Eat nothing containing yeast.(D) Today, in the month of Aviv,(E) you are leaving. When the Lord brings you into the land of the Canaanites,(F) Hittites, Amorites, Hivites and Jebusites(G)—the land he swore to your ancestors to give you, a land flowing with milk and honey(H)—you are to observe this ceremony(I) in this month: For seven days eat bread made without yeast and on the seventh day hold a festival(J) to the Lord. Eat unleavened bread during those seven days; nothing with yeast in it is to be seen among you, nor shall any yeast be seen anywhere within your borders. On that day tell your son,(K) ‘I do this because of what the Lord did for me when I came out of Egypt.’ This observance will be for you like a sign on your hand(L) and a reminder on your forehead(M) that this law of the Lord is to be on your lips. For the Lord brought you out of Egypt with his mighty hand.(N) 10 You must keep this ordinance(O) at the appointed time(P) year after year.

11 “After the Lord brings you into the land of the Canaanites(Q) and gives it to you, as he promised on oath(R) to you and your ancestors,(S) 12 you are to give over to the Lord the first offspring of every womb. All the firstborn males of your livestock belong to the Lord.(T) 13 Redeem with a lamb every firstborn donkey,(U) but if you do not redeem it, break its neck.(V) Redeem(W) every firstborn among your sons.(X)

14 “In days to come, when your son(Y) asks you, ‘What does this mean?’ say to him, ‘With a mighty hand the Lord brought us out of Egypt, out of the land of slavery.(Z) 15 When Pharaoh stubbornly refused to let us go, the Lord killed the firstborn of both people and animals in Egypt. This is why I sacrifice to the Lord the first male offspring of every womb and redeem each of my firstborn sons.’(AA) 16 And it will be like a sign on your hand and a symbol on your forehead(AB) that the Lord brought us out of Egypt with his mighty hand.”

Crossing the Sea

17 When Pharaoh let the people go, God did not lead them on the road through the Philistine country, though that was shorter. For God said, “If they face war, they might change their minds and return to Egypt.”(AC) 18 So God led(AD) the people around by the desert road toward the Red Sea.[a] The Israelites went up out of Egypt ready for battle.(AE)

19 Moses took the bones of Joseph(AF) with him because Joseph had made the Israelites swear an oath. He had said, “God will surely come to your aid, and then you must carry my bones up with you from this place.”[b](AG)

20 After leaving Sukkoth(AH) they camped at Etham on the edge of the desert.(AI) 21 By day the Lord went ahead(AJ) of them in a pillar of cloud(AK) to guide them on their way and by night in a pillar of fire to give them light, so that they could travel by day or night. 22 Neither the pillar of cloud by day nor the pillar of fire by night left(AL) its place in front of the people.

Footnotes

  1. Exodus 13:18 Or the Sea of Reeds
  2. Exodus 13:19 See Gen. 50:25.