Add parallel Print Page Options

24 (A)Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama n’atunuulira eggye ly’Abamisiri ng’ali mu mpagi ey’ekire n’omuliro, n’atandika okulibonyaabonya.

Read full chapter

24 (A)Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”

Read full chapter

24 (A)Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.

Read full chapter

(A)Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.

Read full chapter

21 (A)N’abajaasi be abapangise
    bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
    tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
    ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.

Read full chapter

29 Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.”

Read full chapter