Okuva 15:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
lwe baliyitawo.
Ekyamateeka Olwokubiri 32:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Jjukira ebiseera eby’edda,
fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
Okuva 15:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Mu kwagala kwo okutaggwaawo,
abantu be wanunula olibakulembera.
Mu maanyi go,
olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
Zabbuli 68:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.