Add parallel Print Page Options

17 (A)Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,
    kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,
ekifo kyo Ekitukuvu,
    kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.

Read full chapter

(A)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.

Read full chapter

(A)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
    era mwesigenga Mukama.

Read full chapter

Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
    omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
    era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.

Read full chapter

11 (A)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
    emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
    nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.

Read full chapter