Add parallel Print Page Options

(A)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

Read full chapter

(A)Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno!

Read full chapter

31 (A)Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 32 (B)ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33 Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34 Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”

35 (C)Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.

Read full chapter