Add parallel Print Page Options

10 (A)Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri.

Read full chapter

14 (A)Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna!

Read full chapter

32 (A)Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero.

Read full chapter

49 (A)Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”

Read full chapter

10 (A)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri.

Read full chapter

(A)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

Read full chapter

21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.

Read full chapter

12 (A)N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo.

Read full chapter

48 (A)Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange.

Read full chapter