Add parallel Print Page Options

21 (A)Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi.

Read full chapter

17 (A)ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,
    era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.

Read full chapter

22 (A)Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,
    naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.

Read full chapter

(A)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

Read full chapter

31 (A)Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,
    naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.

Read full chapter

12 Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 13 (A)Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 14 (B)Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”

Read full chapter