Add parallel Print Page Options

(A)Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange. (B)Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”

Read full chapter

(A)Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.

Read full chapter

(A)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
    abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”

Read full chapter

(A)Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
    ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
    akabi nga kabatuukako,’ ”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.

Read full chapter