Add parallel Print Page Options

Musa Addukira e Midiyaani

11 (A)Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. 12 Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu. 13 (B)Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” 14 (C)Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”

15 (D)Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani;[a] n’atuula awali oluzzi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:15 Midiyaani yali omu ku batabani ba Ibulayimu (Lub 25:2). Abamidiyaani baabeeranga obukiikakkono bwa Sinaayi.