Add parallel Print Page Options

Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira.

Read full chapter

Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”

Read full chapter

(A)N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri.

Read full chapter

(A)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,

ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
    abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
    eyawulwamu emigga,

ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.

Read full chapter