Add parallel Print Page Options

10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.

Read full chapter

13 (A)N’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa[a], eky’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama Katonda; n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu ey’envinnyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 23:13 Efa Ze liita nnya n’ekitundu