Add parallel Print Page Options

(A)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga.

Read full chapter

13 (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.

Read full chapter

(A)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
    n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
    n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”

(B)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
    Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
    “Ndi muti mukalu.”

Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
    ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
    ne bakuuma endagaano yange,
(C)amannya gaabwe galijjukirwa
    mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
    n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
    ery’emirembe n’emirembe.
(D)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
    okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
    abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
    era ne banyweza endagaano yange,

Read full chapter

12 (A)Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.

Read full chapter