Add parallel Print Page Options

20 (A)“Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze Mukama, azikirizibwenga.

Read full chapter

(A)Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10 Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 11 (B)Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.

12 Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa okubeerangamu, 13 (C)nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, 14 kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo, 15 kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna. 16 (D)Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa.

Read full chapter