Add parallel Print Page Options

25 (A)“Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 26 (B)Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 27 (C)kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.

Read full chapter

Etteeka ery’Okuwola Ensimbi

35 (A)“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. 36 (B)Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. 37 Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba.

Read full chapter

19 (A)“Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo. 20 (B)Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira.

Read full chapter

10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. 11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. 12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. 13 (A)Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Read full chapter