Add parallel Print Page Options

24 (A)Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, n’omenyaamenya n’empagi zaabwe.

Read full chapter

13 (A)Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza.

Read full chapter

Emikisa Egiva mu Buwulize

26 (A)“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe.

Read full chapter

(A)Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa.

Read full chapter

(A)Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.

Read full chapter

(A)bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.

Read full chapter

12 (A)Yoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.

Read full chapter

34 (A)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (B)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (C)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.

Read full chapter