Okuva 24:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 9:9-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi. 10 (B)Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
11 Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano. 12 (C)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 7:40
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
40 (A)Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.