Add parallel Print Page Options

Emmeeza

23 (A)“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 24 Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna. 25 Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo. 26 Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana. 27 Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa. 28 Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga. 29 (B)Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo. 30 (C)Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.

Read full chapter

48 (A)Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:

ekyoto ekya zaabu;

emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;

Read full chapter