Add parallel Print Page Options

40 (A)Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo.

Read full chapter

15 (A)n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.”

Read full chapter

10 (A)Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”

Read full chapter

(A)Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.”

Read full chapter

13 (A)Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”

Read full chapter

(A)Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe.

Read full chapter