Add parallel Print Page Options

24 (A)ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.

Read full chapter

26 (A)Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27 (B)Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be.

Read full chapter

31 (A)Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be.

Read full chapter

34 (A)Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”

Read full chapter

11 (A)“Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.

Read full chapter