Add parallel Print Page Options

12 (A)“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. 13 (B)Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama. 14 Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama. 15 (C)Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe. 16 (D)Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”

Read full chapter

50 (A)Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola.

Read full chapter